Jeremiah 26:18-19

18 a“Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro,
Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu,
olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’ 
19 bKeezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya Mukama n’anoonya ekisa kye? Era Mukama teyakyusa n’ataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obw’amaanyi!”

Copyright information for LugEEEE